Amakya ga leero, tweyongerayo mu ssuula yaffe ey’enjiri ya Yokaana ey’omukaaga, nga we twaakoma omulundi ogwaggwa twaleka Yesu ali mu kusomesa ekibinja ky’abagoberezi be nti tekibagwaanidde kukolerera era kunoonya mmere eggwaawo… [laba lnny.27], Era okuviira ddala ku lnny. 26, nga bali mu ssinzizo mu Kaperunawumu, yafuba okubakakasa nti Yye Mmere y’obulamu.
Ffena twetaaga okunoonya era n’okugoberera Yesu olw’ensonga entuufu, mu ngeri entuufu era mu ntabagana entuufu(relationship).
Abayudaaya baanonyanga Yesu olw’ebyamagero so ssi olw’obulamu obutaggwaawo era obwannamaddala; baamunoonyanga na bikolwa awamu n’eby’omubiri so ssi mu kukkiriza awamu n’eby’omwoyo; era baamwagala kuba mufuzi waabwe abawa byebeetaaga so ssi Mukama waabwe gwe basinza ne bawuliriza.