Nga bwe twatandika okulaba omulundi oguwedde, essuula yaffe eno ey’omusanvu era n’ey’omunaana zawandiikibwa mu biro by’embaga y’ensiisira Yesu gye yeetabamu nga bwe kyaali kigwaanidde buli musajja omuyudaaya eyabeeranga mu mailo 15 z’ekibuga Yerusaalemi, nga bwe kirambikibwa mu By’abaleevi 23:33-44.
Era ku mbaga essatu; Ey’okuyitako, eya pentekoote, n’eyensiisira, eno ey’ensiisira ye yasinganga okujjumbirwa, nga yamalanga ennaku musanvu, mu zzo abantu mwe baasulanga mu nsiisira, era mu biro bya Yesu Abafalisaayo baali bongerezzaako n’omukolo gw’okusena amazzi, awamu n’okkuma kw’obutaala (butadooba), Yesu kwe yasinziira okubalangira nga bwe kibagwaanidde okunywa ku Yye ng’ensulo y’amazzi amalamu mu 7:37,38, n’era okuba Ekitangaala ky’ensi mu 8:12