Amakya ga leero, neebaza nnyo Mukama, atutuusizza ku nkomekkero z’ensomesa zaffe mu njiri yaffe ey’omutume Yokaana, ng’emirundi egiddako nga Mukama atusobozesezza tuneeyongera okuwumbawumba ebikulu ebitusomesebbwa mu njiri eno, era ssimanyi nti muffe, okujjako nze, tewali yali ayosezzaako mu misomo gyaffe omwaka bukya gutandika, era nkyeebaliza nnyo Mukama. Emisomo kweegili ku internet, osobola oggenda ku calvarykla.com n’ogiwuliriza lwoyagadde era woyagalidde oggiwuliriza, oba okusaba okukolera cd oba mp3 y’azzo, ne wejjukanya bulungi, nga nange bwentera okkola nga ndi mu bweetaavu bw’okuddizibwaamu amanyi n’okuluŋŋamizibwa.