Olubereberye 37 – 39 “Okubeerwa Kwa Mukama Kuwanguza Buli Kiseera Na Mu Buli Mbeera.”

Amakya ga leero tugenda kutandika ekitundu ekisembayo mu kitabo kyaffe eky’olubereberye mwe tusinziiridde emisomo gyaffe mu kigambo kya Mukama ku sabbiiti omwaka guno, era ssi kuba nti tulese ekitundu ekyandiddiridde ku musomo kwe twaakoma mu ssuula 35 omulundi oguwedde oba nti tetuulabe ssuula 38, naye okkwasaganya obutereevu okusomesebwa kwaffe kye tuvudde tuba nga tusomesebwa leero mu ssuula 37, n’eya 39  ku mulamwa “OKUBEERWA KWA MUKAMA KUWANGUZA BULI KISEERA NA MU BULI MBEERA.” Mwe tugenda okulaba obulamu bwa Yusufu eyali mutabani wa Yakobo era ayitibwa Isirayiri omuggulanda mu mukyala we gwe yasinga okwagala Laakeeri.

Yusufu mu ndagaano enkadde awamu ne Danyeri be basajja ababiri bokka abatoogerwaako kibi kyonna mu bulamu bwaabwe, era nga n’obulamu bwa Yusufu bulina enfaananyirizo ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo ezisinga obungi ennyo, ekimuwa ettutumu mu byafaayo bya bayibuli, olw’embala z’obulamu bwe ezigwaanidde okuyigirwaako ennyo ebyo ebitweetaagisa okuba obutuukirivu bwa Mukama Katonda waffe.