Olubereberye 40 – 41 “Ssekalootera Ataafa N’atuuka Ku Byengera.”

Amakya ga leero tuddizibwaayo mu lutugerera ku bwe byaali eri Yusufu, mutabani wa Isirayiri omwagalwa. Gwe twaaleka ateekeddwa mu kkomera oluvannyuma lwa muka mukama we ommuwaayiriza okwagala ommusobyaako, nga bwe twaalaba mu ssuula 39. Ekiteeberezeka nti osanga mukama we teyakkiririrza nnyo mu bigambo bya mukazi we, kwe kusiba obusibi Yusufu okusinga okumussa ku kalabba, naye tulaba nga Yusufu yeeyongera okuganja ne mu kkomera gye yateekwa olw’okuba omukozi omulungi era ow’obuvunaanyizibwa, n’akuzibwa okulabirira abasibe n’ekkomera ng’aliko omukisa gwa Mukama.