Olubereberye 42 – 43 “Baganda Ba Yusufu Bagenda E Misiri.”

Nga bwe twalaba mu ssuula eya 41 nga Falaawo amaze okufuula Yusufu omufuzi mu Misiri era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa ku buli kintu mu Misiri; ku mulundi guno tugenda kulaba ebimu ku byava mu mbeera eno ebikwasaganyiziddwa n’okwagala kwa Katonda eri abalonde be.

42:1-5 Tulaba enjala nga egwa e Kanani; eyali ensi ensuubize era nga Yakobo okugisengamu yaluŋŋamizibwa Katonda.

Katonda aweereza obugabirizi mu ngeri ez’enjawulo. Yaggulawo oluggi lw’okugabirira ab’ennyumba ya Yakobo okuva mu njala eyagwa e Kanani.

Tumanye nti newankubadde tuli wakati mu bisuubizo bya Katonda tusobola okusisinkana okugezesebwa; newankubadde Kanani yali nsi nsuubize naye Katoda yaganya enjala okutuukayo kubanga yalina ekigendererwa okuyita mu njala eno.

Default image
admin