Wetwakomekkerereza okusomesa kwaffe omulundi oguwedde mu ssuula 33 twaleka Isirayiri, era eyayitibwanga Yakobo asenze okumpi n’ekibuga Sekemu, azimbye ennyumba n’azimbira n’ensolo ze ebisiisira, eyo mu nsi y’abakanani, we baamuguza n’ekitundu okufuukira ddala omutuuze. N’azimbira eyo ekyoto n’akiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.
Kyokka bwe tweetegereza, Mukama yali amulagidde ng’asimbula e Padanalaamu okuddayo e Beseri gye baasisinkana era gye yali amukoledde obweyamu, mu ssuula 28. Bwe tulaba mu ssuula 31:3, …..awamu ne 13……
Era osanga kye kiky’amuyisa Yakobo mu ssuula eziddako, nti obwa Yakobo( obulimba) bwaali bukyamulimu nti yali alimbye Esawu nti amuvaako emabega baddeyo eka, wabula n’akwata e bukiikakkono e buvanjuba n’asenga eyo!
Ekyamuviiramu emitawaana nga bwe tulaba leero eri amaka ge, ne kyonoona era n’okuzikiriza obulamu bw’abangi ekyaali eky’akabasa ennyo, weewawo mu ngeri nga bwe gwaali eri Lutti naye eyasenga okumpi n’ekibuga ky’abantu abataali balungi kwesembereza.