Olubereberye 32 – 33 “Ensisinkano Ssinziggu.”

Omulundi ogwaggwa twaleka Yakobo ayawukanye ne Labbaani, Kojja we gwe yali adduka mu kudda ewaabwe e Kanani gye bamuzaala, oluvannyuma lw’okuddukayo muganda we Esawu kaakano emyaka egisoba mu makumi abiri.

Tujjukire nti mu ssuula 27:43-45, Lebbeeka yagamba Yakobo nti obusungu bwa muganda we bwe buliba bumuweddeko alimutumira akomewo, naye kyaali kimugwaanidde aveewo okuwonya obulamu bwe, nga bakikwekereza mu bweetaavu bwe oggenda e Kalani e Panadalaamu afuneyo omukazi. Era n’okutuusa kati nnyina Yakobo yali taddangamu kumuwuliza. Kaakano akomawo eka tamanyi bwe kiri eri Esawu gw’amanyi nti yanyiiza nnyo. Bwatyo bwe yeyongera mu lugendo lwe mwe tulabira afuna ensisinkano ssinziggu ezaakyuusa obulamu bwe mu ngeri ezannamaddala.

Default image
admin