Olubereberye 24 “Ye Mukama W’obugabirizi N’okuggibwaako.II”

Mu kitundu kyaffe eky’okubiri mwe tulabira Mukama Katonda okuba nga Ye Mukama w’obugabirizi n’okuggibwaako, leero tuli mu ssuula esinga ennyiriri ennyingi mu kitabo kyaffe mwe tuli okusomesebwa ssuula ku ssuula, lunnyiriri ku lunnyiriri, ekyawandiikibwa Musa, eky’olubereberye.

Eno ye ssuula etera ennyo okkozesebwa ku mikolo gyaffe egy’obuwangwa bw’Abaganda egy’okwanjula, ekiraga ng’ekigambo kya Mukama bwe kyaaka ne mu mawanga agatali gamu. Nga mu yyo tulaba nga Isaaka mutabani wa Ibulayimu kaakano eyali mu myaka 40, afunirwa omugole era n’amuwasa mu nteekateeka ezaalimu obutereevu bw’omukono gwa Mukama Katonda oyo Ibulayimu gwe yeesiga okutuukiriza ebisuubizo bye gyaali nga bwe yamulayirira, kubanga yalina obukakafu mu Yye okutuukiririza ddala byonna bye yamusuubiza. Era mu ssuula eno mwe muwandiikibwa ebigambo bya Ibulayimu ebyasembayo, wadde yafa luvannyumako nga bwe tunaalaba mu ssuula eddako ng’azadde n’abaana abalala.