Olubereberye 23 “Ye Mukama W’obugabirizi N’okuggibwaako.”

Mu ssuula zaffe zino ezikomekkereza ekimu ku bitundu by’ekitabo ky’olubereberye ekikulu eky’obulamu bwa Ibulayimu, eyali omulonde wa Mukama Katonda era mukwano gwe, gwe yeeyitira ne nabbi we, mwe tulabira okufa kwa Saala mukazi we, okufumbiriganwa kwa mutabani waabwe Isaaka mu ssuula 24, awamu n’okufa kwa Ibulayimu kkennyini mu ssuula 25.

Era mu kkungubaga kw’okufiirwa awamu n’essanyu ly’okufumbiriganwa, mwe tukakasiza nti Mukama Katonda ye Mukama w’obugabirizi n’okuggibwaako, okwaawukana n’ebyo ebyayogerwa Yobu mu Yobu 1:21 nti “ Nava mu lubuto lwa mmange nga ndi mwereere, era ndiddayo nga ndi mwereere: Mukama y’ayawa, era Mukama y’aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe.”

Kubanga amazima gali nti wadde Yobu yabyoogera era Omwooyo N’abiganya okuwandiikibwa, okutegeera kw’embeera eyaliwo eri Yobu gy’ataategeera ng’abyogera erina ttukakasa nti Mukama ssi yeyamuggyako byonna ebyamuggibwaako, wabula yakiganya olw’esonga ffena kaakano zetumanyi obulungi, wadde ate endowooza ya Yobu eyiiyizzibbwaamu ennyimba era n’obubaka obuweebwa ku buli kuziika mu biro byonna.

Mukama Katonda okukira ku ba taata bonna, ssikiwa nti akugabira ebirungi ate n’abikukwakkulako mu ngeri y’ekikangabwa. Wadde ng’akiganya okuba bw’ekityo, olw’obuyinza bwe obw’enkomeredde afuula byonna ottubeera olw’obulungi bwaffe.

Mu kusooka okulaba okufa n’okuziikibwa kwa Saala muka Ibulayimu tusoma mu ssuula 23 bwe gwaali……..

Default image
admin