Mu ssuula yaffe eno ekomekkereza ekitundu ky’ensomesa zaffe ku Ibulayimu, omulamwa ssi kwekumaliriza obulamu bwa Ibulayimu, wabula okulabisa enteekateeka za Mukama Katonda we bwe zituukirizibwa.
Mu ndagaano empya Yesu Kristo yakinnyonnyola mu Matayo 22:32 nti Mukama Katonda wa Ibulayimu, era ye Katonda wa Isaaka, era ye Katonda wa Yakobo, ssi Katonda wa bafu wabula ye Katonda w’abalamu, n’olw’ekyo okomekkerezebwa kw’obulamu bwa Ibulayimu ku nsi nga bwe tubuulirwa leero, ssi y’eyali enkomerero y’obulamu bwe, kubanga bonna ababeera aba Mukama mu Yesu Kristo baba n’obulamu obutaggwaawo……, Amiina. Ng’era bwe yalugera awalala nti abawummuzibwa mu yye babudaabudibwa mu kifuba kya Ibulayimu nga Lazaalo omunaku bwe yali mu Lukka 16:19-31.