Olubereberye 13:5-18 “Ibulaamu Ayawukana Ne Lutti.”

Ennyiriri ezisooka essatu ziyungiddwa wamu n’essuula eya 12. Zitulaga Ibulaamu nga ava e Misiri gyeyali aligagiddwa okulaga olw’enjala eyali e Kanani.
Ebimu ku bikulu ebirabibwa mu nnyiriri zino kwe kulaba engeri Ibulaamu gye yasinza nga mu Katonda nti ne waakubadde yalina effeeza wamu ne zzaabu gattako n ‘ente ennyingi ennyo tebyamujja ku kunoonya bwenyi bwa Katonda era nga tulagibwa engeri gye yawangayo ssaddaaka eri Katonda.