Nga bwe nnali nkyanjudde, omulundi oguwedde, essuula yaffe eno eya leero yetandika ekitundu eky’okubiri ekikulu mu kitabo kyaffe eky’olubereberye era eky’entandikwa ng’omulamwa gw’akyo omukulu bwe bulamu bw’omusajja Ibulaamu era eyatuumwa Ibulayimu, Musa gwe yawandiikako essuula kkumi na ssatu, omusajja amanyiddwa nga Jjajja ffe abakkiriza, era okukakasa amaanyi ga Mukama, Abasiraamu, Abayudaaya n’Abakristaayo mu nsi yonna balina enkwaso y’okukkiriza kwaabwe mu musajja ono.
Ku basajja bonna aboogerwako mu Baibuli, Ibulaamu/Ibulayimu y’ayitibwa ‘mukwano gwa Katonda’( II Eby’omumirembe 20:7; Isa.41:8; Yakobo 2:23).
Era n’empaandiika ku bulamu bwe mu kitabo kino etulaga amazima g’ebyawandiikibwa bya Baibuli obutabaamu ky’ekubirira, kubanga tulagwa obulamu bw’omusajja bwonna, ebirungi n’ebibi mu byonna ne tufuna okuyigirizibwa okutuufu kw’eby’okulabirako ebya nnamaddala, okkakasa nti engero za mu Baibuli ssi nfumo bufumo(ngiiye).