Olubereberye 15 “Okutuukirizibwa Okukkiriza Mu Mukama.”

Essuula yaffe eno ey’ekkuminattaano mwe tusanga entandikwa y’emu ku mpagi ezisinga obukulu mu bukristaayo bwonna obutuufu, ebwaawulira ddala n’enzikiriza endala zonna, ey’okutuukirizibwa okukkiriza mu Mukama kyokka. (Justification by faith in Christ alone.) Era eggisaayo ekitiibwa Ibulayimu wadde mu kaseera kano yali akyaayitwa Ibulaamu ky’obwa Jjajja w’abakkiriza bonna. Wadde ate obulimba bwa Sitaani bwawabya bangi mu ngeri gye kyaali kituukirizibbwaamu.
Mu ssuula eno mwe muva omusingi gw’obuweereza bwa Paulo Omutume gwe yassangako ennyo essira nga bwe gwaali mu bbaluwa ze eri Abaruumi, Abakkolinso, n’Abaggalattiya, mwe yaweera ddala eky’okulabirako kya Ibulayimu nga bwe yaweebwa obutuukirivu eri Mukama olw’okumukkiririzaamu kyokka awatali kirala kyonna, kubanga tewali kirala kyaali kigwaana wadde okweetaagibwa.[Bar.4:3;21-24 zigamba nti……Awamu ne Bagg. 3:6-9 nti…..]
Yakobo 2:23 akakasiza ddala ky’ekimu, okutuweera ddala omuddiŋŋanwa gw’obukakafu, kw’ekyo ekisingira ddala obukulu mu ntabagana egwaanidde aba Mukama Katonda waffe mu linnya lya Yesu Kristo bwe lugamba nti….. “n’ekyawandiiibwa ne kituukirira ekyogera nti Ibulayimu yakkiriza Katonda, ne kimubalirwa okuba obutuukirivu; n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.”

Default image
admin