Olubereberye 11 “Entandikwa Z’ennimi.”

Mu kitabo kyaffe eky’olubereberye, era kye tumanyi ng’eky’entandikwa, nga tumaliriza ekitundu ekikulu ekisooka, tuyingizibwa mu ky’okubiri ekirina essira ku Ibulaamu oba Ibulayimu, Jjajja w’abakkiriza, era mukwano gwa Mukama, leero tulaba bwe gwaali, entandikwa z’ennimi ez’enjawulo, n’enkozesa y’ebigambo ebyawufu mu mpuliziganya z’entabagana z’abantu ab’enjawulo.
Nga twaakalaba entandikwa z’amawanga nga bwe gwaali omulundi oguwedde, nate leero tulaba entandikwa z’ennimi ezaggya oluvannyuma lwa Mukama Katonda okugootaanya enteekateeka z’abaali bamujeemera, nga baagala okumwegulumirizaako.

Default image
admin