Omulundi ogwaggwa lwe twaali mu kitabo ky’olubereberye eky’entandikwa twaleka Nuuwa, musajja wa Mukama Katonda eyasomosa ezadde lye awamu n’ensolo zonna ezaawona amataba, ng’afudde ng’awezezza emyaka 950.
Era mu kitundu kino muu ssuula eno awamu n’eddako tulagwa entandikwa z’amawanga n’ennimi, nga bwe zaasibuka mu musaayi gumu wadde enjawukana nnyingi era okusaasana kw’abantu ku nsi kwabunya bangi wala nnyo.
Omutume Paulo y’ajjukiza Ab’asene mu Bik. 17:24 – 26 nti “Katonda eyakola ensi n’ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu masabo agakolebwa n’emikono, so taweerezebwa mikono gya bantu, ng’eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n’okussa omukka ne byonna; yakola okuva ku omu buli ggwanga ly’abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n’ayawulamu ebiro n’ensalo ez’okutuula kwabwe: banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe: kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng’abamu ab’ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye.