Olubereberye 9:18-29 “Ekibi Mu Batuukirivu Ba Mukama”.

Osanga kyandisinze, Baibuli obutabaamu ngero ng’olutugererwa leero, era nga bwe tuneeyongera okulaba enfunda eziwerako mu kitabo kyaffe kino eky’olubereberye, naye amazima gaba mazima oba ga wooma oba gakaawa, tulina gafuna nga bwe gali.
Ng’ebiro by’amataba biyise (tetubuulirwa banga ki), obulamu bweyongedde okutebenkera, nga bwe twaasomesebwa oguwedde, nkiwa ng’ebyaava mu ndagaano ya Mukama Katonda eri Nuuwa ne batabani be, okubabaza, okubagabirira, n’okubakuuma bibeeyongera nga bwe twaanikiyise ‘omukisa’, kyaavaayo bulungi mu lugero luno, nti ku lyaato waggulu w’amataba ekibi kyaseeyeeyeza wamu n’abaana b’abantu, wadde Mukama yali kubakana na ddimu lya kuzza buggya nsi n’ebitonde byonna ebyagiliko, olw’ekiruyi kye eri embala z’ekibi ezaali ku nsi mu biro bya Nuuwa.
Na bwegutyo, ekyabalukawo mu nju ya Nuuwa, okwefaanaanyirizaako ne bwe gwaali mu biro bya Adamu, obuteegendereza, bwaleetera okwoonoona n’obwereere okuleetesa ebikolimo eri abantu.