“Obutasubwa Yesu Kristo Kumazalibwage Part II”

Mu kweyongerayo mu nsomesa yaffe mu mulamwa gwe twatandika omulundi oguwedde Obutasubwa Yesu Kristo Ku Mazaalibwa Ge, leero tunaalaba mu kitundu ekyokubiri mwe tunaalabira abo abataasubwa Yesu Kristo ku mazaalibwa ge.

Mu kwejjukanya, omulundi ogwaggwa twaalaba nga abantu enkuyanja abomu kibuga Besirekemu, awamu ne Kabaka Kerodde, ne bannaddiini bonna mu Yerusaalemi bwe baasubwa amazaalibwa ga Yesu Kristo, Kabaka wa Ba Kabaka, Omulangira wemirembe ate omubeezi wa byonna ne bonna ku nsi. Tweetegereza ensonga lwaaki bwe gwaali gye bali, tumanye engeri zozzeewala mu biro byaffe.