“Obutasubwa Yesu Kristo Kumazalibwage Part 1”

Okugoberera mu nsomesa zaffe ku mulamwa gwamazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristo, nze mwe nnasembera okubuulira ku bweetaavu bwaffe okutukuza Yesu nga Mukama mu mitima gyaffe olwo kitusobozese okuba abajulirwa be obulungi eri bonna abandyeebuuzizza ku ssuubi lye tulina eddamu era ekkakafu mu Mukama.

Ku luno ekyanzigidde kwe kuba ngabantu bajaguza amazaalibwa ga Mukama nga nokubaawo mu bijaguzo byaabwe taliiwo! Tteebereza ne mukolera omugole akabaga kamazaalibwa ge, ne mulya, ne munywa nokuzina ne muzina kyokka nga gwe mujaguliza tazze na kujja! Nkiwa nti bangi bwe bakola mu bijaguzo bya Ssekukkulu, kyokka ne mu kuzaalibwa kwe bangi baakisubwa nti yali azaalibbwa, ate ngazaalibbwa ku lwaabwe, ate ne tubuulirwa ne kwabo abataakisubwa, ne bafuna obumativu bwobulamu bwaabwe mu kkyo, ebyandituyigirizza engeri gye tusobola okweewala okumusubwa, kubanga ddala obukulu bwe eri ensi yonna tebukigwaana kuba bwekityo.

Default image
admin