Danyeri Intro 2 “Ennyanjula Y’ekitabo Kya Danyeri ; Obukakafu.”

Nga bwe twalaba e Sande ewedde nti ekitabo kino kyawandiikibwa mu kyasa eky’omukaaga (600BC), ne ku mulundi guno, twagala okwongera okwekkeneenya ekitabo kino era n’okulaga obutuufu bw’akyo kubanga ky’ekimu ku bitabo ebirina okuwakanyizibwa mu baibuli olw’engeri obunnabbi obukirimu gye bwatuukirizibwaamu.

Ekitabo kino kiraga okubikkulirwa kw’ebyafaayo by’ensi (secular history), wamu n’ebyafaayo by’obwa Katonda .

Ekitabo kitulaga obufuzi bwa Katonda era n’amaanyi ge eri ensi n’omulabe Setani.