Danyeri Intro 1 “Ennyanjula Y’ekitabo Kya Danyeri; Ekitiibwa N’obuyinza Bwa Mukama Katonda.”

Ekitabo kino kikulu nnyo mu ndagaano enkadde olw’obwaatiikirivu bw’obunnabbi bw’amu obwaaweebwa Danyeri Mukama Katonda waffe era owa Isirayiri mu kyaasa eky’omukaaga (600BC). Era olw’okutuukirizibwa kw’abwo obutereevu bangi baawakanya amazima g’ebyawandiikibwa Danyeri n’obukakafu bw’ekiseera mwe byawandiikibwa, naye nga bwe guli, obutakkiriza bwe busikiriza endowooza ng’ezo, era bingi ebisaanyizzaawo obutuufu bw’obulimba obwo, okusingira ddala n’okuba nti ne Yesu Kristo kkennyini ng’alagula ku biribaawo mu biro by’enkomerero, mu Matayo 24:15 yakakasa ebyawandiikibwa Danyeri ng’alabula Abayudaaya nti “Kale bwe muliraba eky’omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu,………” n’ayongera okubalabula bwe guliba.