Amakya ga leero mu kweyongerayo era tumalirize okusomesebwa kwaffe ku mulamwa “Gw’okusaba Kwa Danyeri Okw’okwegayiririra”, mwe tubadde tuyigira ku musajja wa Mukama, era nnabbi we Danyeri, gwe tusomesebwaamu mu kitabo kye omwaka guno, tuyigirizibwe, tunenyezebwe, tuluŋŋamizibwe, era tubuulirirwe tusobole okutuukirizibwa eri Mukama Katonda waffe ne bannaffe eri okuyitibwa kw’obutonde bwaffe bwonna.