Danyeri 9:20 – 27 “Okuddibwaamu Kw’okusaba Kwa Danyeri”

Amakya ga leero ge tweebaliza nnyo Mukama olw’obugabirizi bwe n’obukuumi bwe gye tuli ottutuusaako, mu kweyongerayo mu nsomesa zaffe mu kitabo kya Danyeri mwe tuli mu ssuula 9 mwe tuludde nga tuyigirizibwa ku kusaba, leero tunaagyaamuka n’okuddibwaamu kw’okusaba kwe mu ngeri ekakasa nate obuyinza, ekisa n’okwagala bya Mukama Katonda waffe.

Mu ngeri ekakasa ekigambo kya Mukama ekyaweebwa nnabbi Isaaya, mu ssuula 65:24 nti “Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati mbaddemu.”