Danyeri 9:1 – 19 “Okusaba Kwa Danyeri Okw’okwegayiririra.II”

Ng’omulundi ogwaggwa twayigirizibwa nti okusaba okutuufu kwe kuba nti kusinziirira mu kigambo kya Mukama. (True prayer is in response to and based upon God’s Word). Nti mu kigambo kya Mukama mwe tujja ebisuubizo bye kwe tusiinziira okuba n’obwesige okumusaba bye tweetaaga ne bye twagala n’obunyweevu bw’okukkiriza nti binaatuweebwa. Obulamu bwaffe ne buba ssi nti ‘kasita’ Mukama yasuubiza, wabula nti ‘lwakuba’ Mukama yasuubiza. Kubanga nga Matthew Henry bwagamba “Ebisuubizo bya Mukama tebiggyaawo kusaba kwaffe, wabula bikusiikuula ne bikwongeramu amaanyi”. Yesu kye yava agamba “Musabe, munaaweebwa, munoonye, munaazuula, era mukonkone munaggulirwaawo, kubanga buli asaba aweebwa, na buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwaawo.”(Matt. 7:7,8) N’era nga bwe twaalaba ogwaggwa nti Yakobo mu 4:2,3 nazo zaali ziwabula mu ngeri y’emu, nga bwe guli ne mu byawandiikibwa bingi nti Mukama Katonda waffe yateekateeka okumusaba ng’engeri y’enkizo okwagala kwe mwe kutuukirizibwa gyetuli. Ne kiba nti okweyongera kw’okutuukirizibwa kw’okwagala kwa Mukama kusinziira ku kweyongera kw’okusaba okutuufu.