Amakya ga leero mu kweyongerayo kwaffe okusomesebwa mu kitabo kyaffe eky’omwaka guno ekikulu mu nsomesa z’ekigambo kya Mukama buli lunaku lwa Mukama, ekya Danyeri. Tuyingizibwa mu kitundu eky’okubiri eky’ekitabo kino, ng’ekitundu ekisooka eky’essuula omukaaga ezisooka okusinga kya byafaayo nga Danyeri bwe yalugerera ku bulamu bw’abwe e Babulooni, ky’okka kino eky’okubiri okusinga kya bya bunnabbi nga Danyeri atugerera ebirooto by’okwolesebwa kw’obunnabbi Mukama bye yamuwa kw’ebyo ebiribaawo mu biro eby’oluvannyuma wadde ng’ebimu by’atuukirira mu bulamu bwe ate ebirala mu maasoko nnyo, okuba nga ne leero tebinnatuukirira.