Tuzze tulaba obulamu bwa Danyeri ne banne abasatu; Azaliya, Kananiya ne Misayiri era ng’okuyita mu bbo, Katonda ayolesa obukulu bwe n’obusukkulumu bwe eri embeera, abantu n’ebintu byonna.
Mu ssuula eno ey’omukaaga tulaba Danyeri ng’ayongera okusaba n’okwegayirira Katonda nga bwe yali enkola ye newaakubadde nga ku luno waali wateekeddwaawo olukwe olw’okumusuula mu mpuku y’empologoma “Abakungu abo n’abaamasaza kye baava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera anti, ‘Ayi kabaka Daliyo, owangaale! Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abamasaza, n’abawi b’amagezi ab’okuntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinyweevu, nga buli anaasabanga eri Katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma.”