Obubaka nga bwe tusomesebwaamu mu kitabo kyaffe ekya Danyeri mu ssuula zino ssi bwangu, era nga nnyini bbufuna bwe bwamunafuyanga, ne bumwelariikiriza olundi n’okumulwaaza nga bwe tubuulirwa mu ssuula ey’aleero, kyokka era buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okuterezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu; omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.(