Danyeri 1:9 – 21 “Emiganyulo Emiyitirivu Gy’obulamu Bw’obuttekkiriranya.”

Amakya ga leero mu musomo gwaffe ogw’okubiri mu kitabo kyaffe eky’omwaka guno 2017, ekya Danyeri, tuneeyongera mu ssuula essooka mwe twasooka okulabira omulundi oguwedde omulamwa gw’OKUSOOMOOZEBWA KW’OBULAMU OBW’OBUTEKKIRIRANYA.” Mwe twalabira engeri y’ennyanjula Danyeri gye yawa entandikwa z’ekitabo kino. Ng’atuwa obuva bwabwe ne bwe gwaali okutuusibwa e Babulooni, era mu Bakaludaaya.
Mu kkyeetegereza, oyinza okkiraba nti emiramwa gyaffe gy’ombi gy’essuula eno essooka gye giringa egituwa omusingi gw’ekitabo kino, kuba n’olunyiriri olusembayo mu ssuula luwa enzingo, y’obulamu bwa Danyeri, eyakiwandiika oluusi mu buntu obw’okusatu.( Ng’awa ‘report.’!)
N’era enfaananyirizo nnene y’obulamu bwa Yozefu/Yusufu gwe twasomako mu Lubereberye ne Danyeri, nga bwe kyaali nti bombi mu myaka gyaabwe egy’obuvubuka egy’ekitiini, baggibwa ewa boobwe, ne bawangangusibwa, kyokka ne batekkiriranya mu bumalirivu obuteeyonoonesa, era wadde bayita mu kusoomoozebwa okukakali Mukama yali nabo era n’abawa okuganja, okkuzibwa, n’amagezi amayitirivu, omwaali obusobozi okuvvuunula ebirooto n’okwolesebwa, okwalemwa bakagezimunnyo, n’abafumu bonna mu bwakabaka gye baali.