Abasinga ku ffe wano nkiwa nti wakiri bwe tuba tetutera zzilaba, twaali tulabyeko ku filimu, we ziba zikomekkerezebwa ne bassaako akagambo “The End”…ekivvuunulwa “Enkomerero”… olwo enkalala ne ziyisibwaako ku lutimbe…..leero naffe tutuusibbwa ku Nkomerero y’ekitabo kya Danyeri kyokka nga ky’ekitundu eky’ogera ku nkomerero bwe liba, ate ne musajja wa Mukama omwagalwa we Danyeri wa kakasibwa nti enkomerero ye eriba nnungi kubanga ey’okunsi eneemuyingiza mu mpeera ennungi gye yasaanira olw’obuweereza bwe obwaali obuyitirivu obulungi nga bwe tuzze tusomesebwa.
Tumanyi nti mu kwolesebwa kwe kuno okwasembayo okwatandikira mu ssuula ey’ekkumi, Danyeri awamu naffe ffena abaaweebwa ekitabo kye, twalagwa bwe biriba okuviira ddala mu byaasa by’edda ennyo ffe bye twasoma ng’ebyafaayo, ate ne bwe biriba gye bujja, era mu nkomerero y’ensi eno.
Era twaalaba nti ne Yesu Kristo Mukama waffe naye yakkaatiriza kw’ebyo Danyeri bye yawandiika, era ne mu kuweebwa okubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu nkomerero y’ebyawandiikibwa ebitukuvu, ne Yokaana bye yaweebwa bikwasaganyizibwa n’ebyo Danyeri bye yaweebwa, ottuwa obukakafu ku bbyo.