Danyeri 12:1 – 4 “Obunnabbi Obw’enkomerero”

Amakya ga leero tutuusibwa ku nkomerero y’ekitabo kyaffe mwe tuzze tusomesebwa bukya mwaka gutandika ku lunaku lwa Mukama ekya Danyeri. Essuula mwe tusembezeddwaayo mu kitabo kino essatu mwe tulabye okwolesebwa kwa Danyeri okwasembayo, era nga bwe tukulabye mu byonna ebimu ebyatuukirira nga bwe byamuweebwa mu byafaayo, nga byonna byagendererwa Mukama eri okutukuzibwa n’okutuukirizibwa kw’abantu ba Mukama mu kubonaabona, ye Danyeri kwe yasooka okuteebereza nti kwaali kukomekkerezebwa oluvannyuma lw’emyaka ensanvu egyalangibwa Yeremiya, era n’affe gye twalaba gyalangwa ne Isaaya. Kyokka ate ne wataba njawulo ya maanyi, era mu mmwaanukula n’okwolesebwa kuno okwasembayo, Mukama n’amulaga bwe guliba eri Isirayiri mu biro byonna okuva mu bufuzi bwa Kabaka Akaswero, okuyita mu Alexander, ne ba Antiyoka bonna, okutuusiza ddala kw’oyo aliggya mu nnaku ez’oluvannyuma, gwe twaalaba omulundi oguwedde aliyitiriza mu kutuntuza ensi yonna okusingira ddala Isirayiri, era mu kweyongerayo mu ssuula 12

Default image
admin