Danyeri Okuwumbawumba “Okwejjukanya Mu Kuwumbawumba Ekitabo Kya Danyeri.”

Amakya ga leero mu musomo ogunaasemberayo ddala mu kitabo kya Danyeri ekibadde omusingi gw’ensomesa zaffe z’oku lunaku lwa Mukama bukya mwaka gutandika mwe tufunidde emisomo 25, nayagadde tube n’okwejjukanya mu kuwumbawumba ekitabo ekibadde ekiyitirivu, olwo tukiveeko tudde ku kitabo ky’Okuva, eky’okubiri mu Baibuli, ekyawandiikibwa Musa.
Mu butuufu olw’obudde tetuube na ngeri ya bufunze bw’emiramwa gyonna gye tusomesebbwaamu, wabula nsaba Omwoyo wa Mukama atuwe kye nnayise ‘enjokyerezo’ (imprints) ezinaasigala mu ndowooza zaffe ne mu mitima gyaffe okuva mu kitabo kya Danyeri, ezinaaleetera obulamu bwaffe obutasigala ky’ekimu, mu ngeri nnyingi, nga bwe guli nti “ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.”(