Danyeri 11:21 – 45″Akontana Ne Kristo Eyaliwo N’alibaawo”

Amakya ga leero mu kweyongerayo kwaffe mu kusomesebwa ku bunnabbi bw’ebyafaayo ebyatuukirira ebyaweebwa malayika Gabulyeri eri omwagalwa era nabbi wa Mukama Danyeri mu ssuula ey’ekkumi n’emu, okuva we twaakoma omulundi oguwedde mwe twaabuulirwa ku bakabaka abalagulwa okutuntuza Abayudaaya era ensi ya Mukama entukuvu, era byonna ne bibaawo mu byafaayo by’ensi, leero tusoma ku basajja babiri nga bombi ba mu kifaananyi kimu, eky’oyo akontana ne Kristo (Anti-Christ).

Default image
admin