Amakya ga leero nga tweyongera okusomesebwa mu kitabo kye twakatandika, ekyebbaluwa eri Abaebbulaniya ekyawandiikibwa omuntu atamanyikiddwa era gwe tuteetaaga kuteebereza wabula okkakasa nti Omwoyo Omutukuvu yensibuko ya byonna ebigirimu.
Nga mu nnyanjula mu bufunze twategeezebwa ku busukkulumu bwenjiri ku byobunnabbi, olwobukulu bwa Yesu Kristo Mukama waffe, obunnabbi, nemikolo byonna gwe byaali bisongereza, olwobuyinza bwe nobutonzi awamu nobubeezi bwobutonde bwonna mu ntuuko zaabwo.
Tujja kkiraba nti ebbaluwa eno okusinga esosowaza obukulu bwa Yesu Kristo ngemwoolesa gyetuli mu ngeri enkulu ennyo fenna ezitugwaanidde okumukakasa nga Mukama waffe.