Amakya ga leero nga tweyongera okusomesebwa mu kitabo kyebbaluwa eri Abaebbulaniya, ku lwabatabaddengawo, mu nsomesa essatu ezaakaggwa, twaategeera nti wadde omuwandiisi webbaluwa eno omuntu teyamanyibwa, kitumala okkakasa nti Omwoyo Omutukuvu ye yakituwa, nga bwaali ensibuko webyawandiikibwa byonna mu Baibuli, era ngomulamwa omukulu bwebusukkulumu bwa Yesu Kristo ku byonna, era ne bonna, emirembe gyonna.
Era ebbaluwa yateeberezebwa okuwandiikibwa mu mwaka gwenkaaga mu musanvu, nga Yeekaalu eneetera okuzikirizibwa mu AD 70, era nti yawandiikibwa eri Abayudaaya abaali baabuulirwa enjiri Abatume Yesu be yalekawo, ne baleeterwa mu kuyigganyizibwa olwokukkiriza kwaabwe, awamu nabo abaali balinamu enkenyera mu kukkiriza kwaabwe, awamu nabo abaali bakyagaanye okukkiriza, ebibinja byonsatule bisobole okuba nokukkiriza okunyweevu mu Yesu Kristo olwobusukkulumu bwe, nokuba oyo amala mu byonna emirembe gyonna eri obweetaavu bwobutuukirivu bwa Mukama Katonda.