Abaebbulaniya 13:1-3 “Tweyongere, Tetwerabira Era Tujjukire Okwagalana”

Okwagala okwogerwako nti mwagalane ngaboluganda kuva mu kuba nti bonna abaasembeza Yesu Kristo bafuuka abaana ba Katonda mu Kristo Yesu. Yokaana 1:12.

Okwagala bwe kuba nga weekuli, kweyongere. Okwagala tekuuliiko kkomo nti kutuuka ne kuggwaayo oba ngabaagalibwa baweddeyo; naye kweyongera kubanga buli lukya eriyo abanoonya okwagalibwa.

Gyetubeera, ku mirimu gyaffe, mu kkanisa, mu byobufuzi buli wonna we tutunula tulaba ebituli mu bulamu bwabantu ebyetaaga okuzibwa nokwagala.

Default image
admin