Abaebbulaniya 13:4 “Ekitiibwa Ky’Obufumbo.”

Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.

 

Mu ssuula yaffe ekomekkereza ebbaluwa eri Abaebbulaniya, essuula eyekkuminassatu, tuzze tulaba okubuulirirwa eri obweetaavu bwempisa ezigwaanidde abo abakkiririza era abeesiga Mukama Yesu Kristo ngomulokozi era Katonda waabwe. Era mu ntandikwa mwe twaakalaba abuulirira ku kwagalana ngoyo eyandisosowazza etteeka erimu Mukama waffe Yesu Kristo lye yatulekera ngabayigirizwa be mu Yokaana 13:34,35 Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala. Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”