Mu kitundu kyaffe mwe tusomesebwa leero, awamu nabo abaawandiikibwa ebbaluwa eno, tuweebwa okuluŋŋamizibwa mu kujjukizibwa awamu nokulabulwa, weewaawo mu ngeri eggyayo ennyo amakulu gokusomesebwa ekigambo kya Mukama mu kitabo kino oluvannyuma lwokusomesebwa okuva mu kitabo kyOkuva. Natuwa okugerageranya kwendagaano ebbiri, enkadde eyetteeka nempya eyekisa.