Nga bwe twaakikomekkereza omulundi oguwedde nti omulamwa gwaffe leero ye yali ensonga yokubuulirirwa kwaffe kwolwo. Ngomuwandiisi webbaluwa eri Abaebbulaniya ali mu kkalaatirira abasomi be bonna mu kiseera ekyo abaali abakkiriza Abayudaaya, kyokka nga bitwaaliramu nabo abaali tebanneeweerayo ddala kukkiririza mu Yesu Kristo, ngera abengeri zombi basangibwa mu ffe ababisomesebwa leero, eri obweetaavu bwokweyongerayo, okufuba nokuba obulindaala. [The need for continuance, diligence and vigilance].
Era ngakyaalina ekifaanani kyokukkiriza kwaffe okuba ngembiro, kye twatandika nakyo essuula eno, mu kujjayo enkozesa yebyo byonna bye yali ababuuliridde mu makulu gokuba nobusukkulumu bwa Yesu Kristo nga Kabona waffe Asinga Obukulu era saddaaka yaffe eyolubeerera ngobukakafu bwobulokozi bwaffe obwannamaddala.