Oluvannyuma lwokuweebwa olukalala lwabakkiriza mu byawandiikibwa abaali obujulizi nti okukkiriza kuwangula era kuwanguza mu bulamu buno nemirembe gyonna. Nga ne Mukama waffe Yesu Kristo ye yali entikko yebyokulabirako byonna gye tuli abamukkiririzaamu ngOmulokozi era Mukama.
Omuwandiisi webbaluwa yayongera okuluŋŋamya Abaebbulaniya na ffenna eri obweetaavu bwokutegeera ekituyisa mu mbeera enkakali era enzibu ezitusoomooza kyokka ne kiba nga kirungi nnyo gye tuli.