Abaebbulaniya 12:1-4 “Yesu Kristo Eky’okulabirako Kyaffe”.

Olunny. 1 Olukalala lwabantu abaayogerwako mu Ssuula eyekkumi nemu (11) bajulizi abakakasa obwesigwa bwa Katonda.

Bwe tusoma ku bulamu bwabwe tweyongera okuddamu amaanyi mu Kristo Yesu nti ali wamu nabamwesiga.

Ekyokulabirako ekyokugumiikiriza nokubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Muka, era obulamu bwe butulaga ngentegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira. Yakobo 5:10-11