Amakya ga leero, oluvannyuma lwokusomesebwa ku kukkiriza emirundi ebiri mwe tusomesebbwa ku kukkiriza okusinziira mu ssuula eyekkumi nemu eyebbaluwa yAbaebbulaniya, olwobukulu bwomulamwa guno, nasikirizibbwa okubaako ne bye tutegeera obulungi era ebikalaatirwa gye tuli ku mulamwa guno, naddala bwe kiri nga bwe twaayiga kiddiŋŋanwa mu byawandiikibwa nti Omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza. Ekituwa amakulu nti obulamu bwa buli oyo ayitibwa omukkiriza kwe kukkiriza kwe era okumutuukiriza eri Mukama Katonda waffe, oyo eyatonda eggulu nensi.