Mu ssuula yaffe eno, mwe muli ekyamagero ky’okuliisa kw’enkumi ettaano ez’abasajja, ekibalwa obulungi, ng’emitwaalo ebiri ng’otaddeko abakazi n’abaana.(Bano baali bakunukkiriza okujjuza ekisaawe kye Nakivubo.)
Kye ky’okuna ku bubonero Yokaana Omutume bwe yakozesa okwolesa nti Yesu ye yali Masiya Omwana wa Katonda. Era kye kyamagero kyokka ekisangwa mu njiri ennya zonna, nga kisangwa mu Matt. 14:13 -23; Makko 6:30 – 46; ne Lukka 9:10 – 17. Era nga bweguli nti Yokaana yalinga atunuza abasomi be mu byaali bikwasaganya n’ebyaali biwandiikibbwa ku Yesu mu njiri endala, akabonero kano kaawandiikibwa okusooka okw’olesa obutonzi bwa Yesu Kristo obw’enkukunala, n’okuba nti ekyo ky’awa enteekateeka ennungi Yesu kwe yasinziira okusomesa ku kubaakwe “Omugaati/ Emmere y’obulamu.” Ekyayasanguzibwa emirundi ena mu ssuula eno; nny. 35,41,48,51. [Olw’okuba nti mu b’obuwangwa bwa Yesu emigaati y’ebalwa ng’emmere, tukitwaala nti mu kwogera “mugaati” – oli aba ategeeza “mmere”. “Chai”……](Matt.4.4).
Karooli Spurgeon, yagamba…
