Yokaana 17 “Essaala Ya Mukama Waffe Yesu Kristo. I”

Mu Matayo 6:9 -13 awamu ne Lukka 11:2 – 4, wali essaala Yesu Kristo gye yasomesezaamu abayigirizwa be okusaba, kyokka ate n’eyitwa “essaala ya Mukama waffe”, kye ssirowooza kuba kituufu kubanga nga bwe gwaali yali yaffe ng’abayigirizwa be okuyigirako okusaba.
Era mu byawandiikibwa by’enjiri zonna kyamanyika bulungi nti Yesu yasabanga nnyo Katonda Kitaffe, era ezimu kussaala ezo mu bimpimpi ne ziwandiikibwa, naye mu ssuula yaffe eno ey’e17 Omutume Yokaana yaluŋŋamizibwa ottuwa obulambukufu bw’essaala ya Mukama waffe mu kiro ekyakomekkereza obuweereza bwe mu bbo, mu ngeri ekakasa obuweereza bwe bw’okwegayirira ababe olubeerera nga Abaebbulaniya 7:25 bwe lugamba nti “Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.”