Yokaana 19 “Okufa N’okuziikibwa Kwa Yesu Kristo”

Leero, tusoma entikko y’essaawa y’okutuukirizibwa kw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo ng’aweebwaayo nga ssaddaaka olw’ekibi ku lunaku lwennyini mu kujaguza ebiro by’Okuyitako, Omwana gw’endiga lwe gwaasalwa nga bwe kyaali kigwaanidde mu mateeka ga Musa. Mukino mwe mwaali okunyweesebwa kw’ekikompe ky’obukaawu bwa Katonda Kitaffe eri ekibi, agaali amagezi ga Katonda olw’obulokozi bw’ensi y’aboonoonyi fenna abaali amatwaale g’ekikolimo ky’ekibi mu kufa n’okuzikirira by’akyo.