Yokaana 18 “Okulyaamu Mukama Wo Olukwe, – Okwegaana Yesu Kristo.”

Mu ssuula yaffe ey’ekkumin’omunaana mwe twasomesebwa omulundi oguwedde ku ‘Kubeera kwa Yesu Kristo mu buyinza bwa buli mbeera’, leero nga bwe twaasuubizibwa tulaba ensonga enkulu ezzaggibwaayo ku byabaawo ekiro ekyo ze tugwaanidde okuyigirako ebyo ebitugwaanidde okweewala ng’abakkiriza era abayigirizwa ba Yesu Kristo ebyakolwa abayigirizwa be ab’okumwanjo.
Ebyaabaawo ekiro ekyo twaabisoma mu ssuula omulundi oguwedde nga bwe twagiyitamu yonna, era nga tebyaawukana nnyo n’ebyawandiikibwa mu njiri endala; Mu Matayo 26:30>, ne mu Makko 14:26> awamu ne mu Lukka 22:39>.