Mu kweyongerayo kwaffe okulaba essaala ya Mukama waffe Yesu Kristo gye twanditutte ng’enkulu, mwe twalabira omulundi oguwedde okuggumizza kwe kw’obweetaavu bwaffe obw’okusabanga Katonda Kitaffe ng’engeri en’etusobozesa okumugulumizanga mu bulamu bwaffe, awamu n’ottusobozesa okubazanga ebibala ebyo by’atwaagaza okweyongera okubaza ate eby’olubeerera, nate era ng’engeri eneetuleetera okujjuzibwa essanyu olw’obutuukirivu bw’obulamu bwaffe mu kuweesa Mukama ekitiibwa, nga bino twaalaba mu Yesu Kristo eky’okulabirako eky’enkalakkalira kuba obuweereza bwe gye tuli n’okutuusa leero kwe kutwegayiririranga nga bwe tugambwa mu Baeb. 7:25.
Twamenya ebikolo omusanvu ebiri mu ssaala eno ebyaali emilamwa emikulu mu njiri ya Yokaana yonna…