Yokaana 14:15 – 31 “Obubeezi Obutuleeterwa Obugonvu Eri Mukama”

Mu ssuula Yesu Kristo mwe yayoleseza okuba Ekkobo, N’amazima, N’obulamu eri abayigirizwa be mu ssaawa mwe baali abeelariikirivu ennyo, olw’okuba ebibuuzo byabwe, n’okwanukula kwaabwe gyaali byalaga obweetaavu bwaabwe mu kwaagala okuba ne Yesu Kristo mukwano gwaabwe omwaagalwa ennyo ate Mukama waabwe omulungi ennyo, n’era omulamwa gw’okubudaabuda kwe gyebali gwaali mu kubeera kwe nabo ddala, wadde nga tebamulaba na maaso gaabwe oba omukwaatako nga bwe babadde batabagana naye, – kyabaava beetaaga okumukkiririzaamu mu ngeri yemu gye bakkiririza mu Katonda Kitaffe ali mu ggulu. Yesu kyeyafuba okubazzaamu omwooyo nakyo nti “mu kkiririza mu Katonda gwe mutalabanga, nange kaakano munzikiririzeemu mungeri yemu, kubanga nze naye tuli kye kimu.”