Nga bwe twatandika okusomesebwa kw’ebyo Mukama waffe Yesu Kristo bye yayogera eri Abayigirizwa be ekkumi n’omu ng’abasiibula, oluvannyuma lwa Yuda Isukalyoti, okubaamuka agende amulyeemu olukwe, olwo embeera y’okweraliikirira yabaggyira, – kubanga bwe baali baakamala okumuyingiza mu kibuga n’emizira mu kitiibwa,(ekyabaleetera okwesunga ebifo bye baali bawakanira), ate ali bbagamba , ‘waliwo mu bbo anaamulyaamu olukwe’! ate ‘akaseera katono ka kyaali nabo’, (13:33), nga ne Peetero mpagi luwaga waabwe alabise okumweegaana! Olwo nebasoberwa nnyo….
Kwe kubagamba nga bwe tusoma leero….
