Mu kusomesebwa kwaffe okwa leero, nga bwe twakinokolayo omulundi oguwedde, oluvannyuma lw’abakulembeze b’Abayudaaya oggobera omusajja eyazaalwa nga muzibe w’amaaso ebweeru wa Yekaalu, kyokka Yesu n’amusisinkana n’amusembeza gyaali okumukkiririzaamu alokolebwe.
Yesu kye yasinziirako okwasanguliza abawulize be awamu naffe, okwolesebwa kwe gyetuli ng’omulyango gw’endiga awamu n’omusumba omulungi ng’akozesa enfaanaanyirizo eyali emannyiddwa obulungi mu bantu ba Isiraeri y’obusumba, kubanga baali bakitwaala nti abakulembeze b’abwe oba mu by’obufuzi oba eby’eddiini baali ng’abasumba b’abantu.
Nze n’enfuniramu okusoomoozebwa okw’amaanyi awamu n’okusomesebwa okukulu kubanga nga bwe guli ntwaalibwa ng’omusumba, olw’obuvunaanyizibwa bw’obuweereza bw’empereddwa Mukama.