Nga bwe gwalinga mu buweereza bwe, Mukama waffe Yesu Kristo, yakolanga ebyamagero okusisinkana obweetaavu bw’abantu, era n’okusinziirako okubuulira amazima g’okubikkulirwa kwe eri abantu, era n’ebyamagero ebyo nga Yokaana bw’abiyita bwaali bubonero okkakasa nti ddala yali Kristo, Masiya ensi gwe yalindiriranga okuba eky’okuddamu eri buli omu mu bweetaavu bwonna, n’okusingira ddala okumalamu ekibi n’okufa, oba okuzikirira amaanyi.
Na bwekityo okuzibula kw’amaaso g’omusajja eyazaalibwa nga muzibe kyaali kimu ku bisuubizo by’ebyo omulokozi Masiya bye yali ow’okkola nga nabbi Isaaya bwe yalanga mu 29:18,19 Yesu kwe yasinziira okuddamu Yokaana omubatiza mu Matt. 11:5 nti “Era ku lunaku luli omuggavu w’amatu aliwulira ebigambo by’omuzingo, n’amaaso g’omuzibe galiraba okuva mu butalaba ne mu kizikiza. Era abawombeefu balyeyongera okusanyukira Mukama, n’abaavu mu bantu balisanyukira Omutukuvu owa Isiraeri.”
Ekyamagero kino Yesu kwe yasinziira okusomesa mu bufunze ku buzibe bw’amaaso g’omwooyo mu nny. 39 – 41, awamu ne ku busumba obutuufu n’obutali mu ssuula 10.